Abatujju ababadde ne bbomu ebase-UPDF

Bya namunye

Waliwo ekintu ekiteeberezebwa okuba bbomu ekibaluse okumpi n’ekiggwa ky’Abajulizi e Munyonyo ku luguudo olwabbulwamu Paapa Francis. Kigambibwa nti waliwo abantu babiri abafudde nga mu kiseera kino ab’ebyokwerinda basazeeko ekitundu okumanya ekituufu ekituuseewo

Kyoka Eggye lya UPDF litegeezezza nga abantu abafiiridde e Munyonyo bwebabadde abatujju ababadde ne bbomu nga bagezaako okutaataaganya ebikujjuko by’abajulizi. UPDF esabye abantu okubeera obulindaala era baloopere ab’obuyinza ekintu kyonna kyebekengera

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *