Bya namunye news
Abasuubuzi abatabibwa ekibiina ekya Federation of uganda Traders Association balayidde nga w’ebagenda okuggala amadduuka gabwe nga balaga obutali bumativu ku’nsonga y’emisolo eyongedde okwekanama mugwanga.
Bwabadde ayogerako n’ebanamawuliri pulezidenti w’ekibiina kino John Kabanda oluvanyuma lwolukiiko lwatuziza mu Kampala abasuubuzi batwala bakanyiza kimu nti bagenda kugalawo amadduka gabwe omwezi ogujja nga kumi nataano bino webijjidde nga abasuubuzi ensisinkano yabwe ne president museveni gyeyabalaganya olwaleero y’ayongezeddwayo okutuuka nga 31 -july w’omwaka guno ngakino kyekijje abasuubuzi mumbeera.
John Kabanda nga ayogeera n’abasubuuzi
Bino webijjidde nga nekibiina kyabasubuzi ekya kacita Uganda olunaku olweggulo bategezezza nga bwengenda okuggala amadduuka nabo nebawa nga 16 July womwaka guno Kabanda bwabuziddwa nti lwaki tebakoze lunaku lumu ne Kacita Uganda ategezeza nti aba kacita Uganda tebabesiga kubanga bandituka olunaku lwebalaze ate nebefulira mukiti ngebazi.
Abasuubuzi abetabye mulukungana luno basoose kukubagana mpawa ng’abamu ne bagamba okwekalakaasa kutandikirewo olwaleero abandi kulwokussooka lwa ssabiiti ejja abalala nti balinde pulezidenti addemu okubasisinkana bamanye kyabagaamba olwo basalewo kyebazaako abasinga obungi kyebawakanyiza.
Ono agambye ekyokuggala kampala yekka tekikola makulu nasaba abasuubuzi okwetoloola egwanga uganda okubegattako bakolere wamu okulaga obulumi bwebakoleramu kubanga ekizibu kibanyiga lumu ng’abasuubuzi mugwanga.
Entabwe yona yava kunkola eyaletebwa okuyitibwamu okusasulwamu omusolo gwa ”EFRIS” nti esaana bamakolero, ng’abbo ebamalako emirembe era nga bajiwakanyizaddala.