Abasuubuzi abeekalakaasiza baleeteddwa mu kkooti

Bya Mugula Dan

Abasuubuzi 17 abaakwatiddwa olunaku lw’eggulo ku bigambibwa nti baabadde bakuma omuliro mu bantu okukola effujjo n’okuwaliriza abalala okuggalawo amaduuka gaabwe baleeteddwa mu kkooti ya Buganda Road mu maaso g’omulamuzi, Winnie  Nankya Jatiko okulaba oba bakkirizibwa okweyimirirwa.

 Bino nga bigenda mu maaso, Abasuubuzi mu Kampala nga bakulembeddwa akola nga Ssentebe w’ekibiina ekibataba ki KACITA, Issa Ssekitto bagumbye ku kkooti eno nga baagala bannabwe bonna bayimbulwe mu bunnambiro era nga bawera nti tebagenda kuvaawo okutuusa nga bayimbuddwa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *