ABASUBUUZI BASAZEWO OKUGGALA AMADUUKA OLUNNKU LW’EBANASISINKANA M7 EKOLOLO

Bya mugula @namunyenews

Abasubuuzi basazewo okuggala amaduuka gabwe nga musavu omwezi ogugya we banasisinkana pulesidenti Museveni ekololo okukatiriza byeyayogedde mu “state house”nga aliwamu n’abasubuuzi okubayamba kusonga y’emisolo.

Abasubuuzi okwekalakaasa kyaddiridde okuwakanya enkola etali ya bwenkanya eya “Electronic Fiscal Receipting and Invoicing Solution(EFRIS) ey’ekitongole ekisolooza omusolo ekya “Uganda Revenue Authority”( URA) kyokka abasubuuzi bakkirizza okuggulawo bizinensi zaabwe oluvannyuma lw’okusisinkana Pulezidenti Museveni mu kiro ekyakeesezza Olwokutaano ku nsonga eno.

Ow’olwaleero abasubuuzi nga baliwamu n’ekibiina ekibatwala ekya Kacita batuziza olukunga’aana lwa’bannamawulire Ku kitebbe kyabwe ku Royal complex mukampala nebebaza banabwe okukolera ewamu nebaggalawo amaduuka era nga kino kyayabye nnyo abasubuuzi okubagirawo omusolo gwa EFRIS 

 Ssentebbe wa “KACITA” Musoke Tradeus ategeezeza nti abasubuuzi okugenda okusisinkana pulezidenti basobodde okuvanyo nobuwanguzi obwamanyi ku Museveni yawadde ekiragiro eri ekitogole ekisolooza omusolo mugwanga ekya URA okuyimiriza ebibonerezo byonna byebadde byewa abasubuuzi nga balemeredwa okusasula omusolo,mu kiseera kino,   

Ono agambye nti olukiiko luno, ebibinja by’abakulembeze b’abasubuuzi  kyakulembeddwamu Ssentebbe musoke Tradeus akulira ekibiina ekigatta abasuubuzi mu Uganda ekya Kampala City Traders (KACITA) saako ne John Kabanda akulira Federation of Uganda’s Traders Associations (FUTA) 

“Okuteesa okusinga kwabadde ku musolo ogusoloozebwa ku bizinensi zaabwe naddala enkola ya EFRIS.Abakulembeze b’abasubuuzi bakkiriziganyizza okuddamu okuggulawo bizinensi zaabwe nga bwe bagenda mu maaso n’okwebuuza ku gavumenti,” musoke bwe kyategeezezza 

Musoke ategeezeza nti olukiiko lwateesezza ku musolo ogusoloozebwa ku ngoye ezibalirirwa okusinziira ku kkiro abasubuuzi gye bagamba nti mungi kyokka n’abakola ebintu abeenyigira mu by’amaguzi bya ‘’ abatunda ebintu mubungi ne ‘’ okutunda ebintu mubutono tebalekawo kifo abasubuuzi kye bayinza kukola bizinensi, ekivaamu obusubuuzi obutali bwa bwenkanya.

Musoke ategeezeza nti pulesidenti Museveni yawulirizza ensonga zaabwe nga muno mwe mwali n’eky’okukozesa ekola ya Electronic Fiscal Receipting and Invoicing Solution – EFRIS) gyebarompedde pulesidenti nti ekola eno eyadigito tebagidegera abasinga obungi era bwe batakikozesa babonerezebwa. Omusolo ogwongezeddwa ku muwendo ogwa “Value Added Tax (VAT), nga mu kiseera kino guyingiza obukadde 150 buli mwaka gwe bagamba nti gulina okwongerwako,” Musoke bwe yagambye.

Ono agambye nti Pulezidenti Museveni yagambye nti abasubuuzi balina okufumiitiriza n’okuddamu ebibuuzo oba baagala okuzimba eggwanga lyabwe Uganda oba amawanga amalala nga basuubula ebyamaguzi bye bakola.

“nti pulesidenti yabasabye okweyigira mu bulimi obutasindika ssente zaffe ebweru era Uganda tesaana kubeera supamaketi eri amawanga amalala.” newano waliwo amakorero agakora ebintu ebilungi.

Wabula agamba nti olukiiko olulala lwakutuula nga May, 7 ku kisaawe ky’ameefuga e Kololo okwongera okuteesa ku nsonga zino.

Musoke agambye nti mu kiseera kino abasubuuzi bagenda kuggulawo bizinensi zaabwe nga Museveni yeebuuza ku ba tekinologiya ku nsonga eno.

 Kyaddiridde abasubuuzi okwekalakaasa okuva ku Lwokubiri nga bawakanya ddala enkola ya EFRIS ey’okussa mu nkola enkola ya URA.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *