Bya Mugula Dan
Abaserikale ba poliisi bana bali mu kaduukulu lwa kukwata omukazi mu bukambwe mu kibuga Mbarara. Omukazi ategerekeseeko erya Victoria Kabatoraine yakwatiddwa ku by’okusaalimbira ku ttaka. Ettaka lino liri okwolekera ekkolero lya Coca-Cola mu Lubiri cell mu kibuga Mbarara.
Mu katambi akaafulumiziddwa ku mikutu gya yintaneeti, abaserikale ba poliisi babiri mu ngoye eza bulijjo bakwatiddwa nga basika Victoria Kabatoraine mu bitoomi.
Omwogezi wa Poliisi, Rusoke Kituuma kumukutu gwe ogwa X edda ogwayitibwa Twitter, yategedde abaserikale ba poliisi abaakoze okusengula abantu n’okukwata abantu mu bukambwe. Bano ye Andrew Betunga eyakulembeddemu okusengula abantu, Detective Constable Darius Aharizira, Detective Constable Hope Nsasirwe ne Detective Constable Loyce Kiboneka.
Okusinziira ku Kituuma, okuva olwo abana bano bakwatiddwa era mu kiseera kino basibiddwa Mbarara.