Bya namunye
Omukulembeze w’ eggwanga Gen.Yoweri Kaguta Museveni Tibuhaburwa asuumusizza abasirikale ba police 5 amaddaala, okugenda ku ddaala lya Assistant Inspect General of Police.
Eddala erisinga obunene lya IGP nga yabeera sabapolice wa Uganda ,era ebiseera ebisinga obungi ba AIGP bebatera okulondebwamu Ssaabapolice.
Abasuumusiddwa ye AIGP Apola James akulira eby’okuzimba, AIGP Nuwabine Lawrence akulira police y’ebidduka mu ggwanga, AIGP Stephen Tanui akulira poliisi ezikiriza omuliro era ng’ono yaliko omuduumizi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano,AIGP Obana Joseph Direkita wa poliisi ya Interpol saako AIGP Musana John omumyuka wa senkulu wa poliisi evunanyizibwa ku byokuzimba.
Abakuziddwa abasinga babadde ku madaala g’obwa commissioner mu poliisi.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Rusooke Kituuma asinzidde mu lukungaana lwa banamawulire ku kitebe kya poliisi e Naguru nagamba nti okulondebwa kwabwe kwakwongera okutambuza emirimu gya poliisi obulungi