Bya Mugula Dan
Minisita w’amasannyalaze n’ebyobugagga eby’omuttaka Ruth Nankabirwa Ssentamu, atadde kunninga ababaka ba Pulezidenti n’abakulira Poliisi, abatakoze kimala mu kulwanyisa obubbi bw’amasannyalaze, ekiviiriddeko gavumenti okufiirizibwa.

Nankabirwa bino abyogeredde ku Ssengejjero ly’amawulire ga gavumenti, bw’abadde akuba ttooci mu nnaku 100 ez’ekitongole ki UEDCL bukya kisikira ekitongole ki UMEME nekitandika okuddukanya masannyalaze mu ggwanga