Ekibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA, kikalize abantu 12 obutaddayo kwetaba mu mirimu gyonna egy’omupiira, balangibwa kwenyigira mu bikolwa eby’okugulirira mu muzannyo guno.
Abantu bano 12 kuliko Kaddu Ali, nga ono akaligiddwa obulamu bwe bwonna.
Ssajjabi Geoffrey akaligiddwa ebbanga lya myaka 10 ate nga Kongola Ahmed akaligiddwa emyaka 5.
Abakaligiddwa emyaka 3 bali 5 okuli Epieru Richard, Atuheirwe Joyce, Nabisere Tausi, Nantatya Godwin ne Okello Simon Peter.
Omulala ye Muyaga Khalid akaligiddwa emyaka 2.
Abakaligiddwa omwaka ogumu ye Noor Hassan, Kiyemba Ratif ne Atuhaire Docus.