ABALIKO ABANENE BA KCCA ABAAGOBWA BAGENDA KUGASIMBAGANA NEBAMBEGA BA POLIISI EKIBULI

Bya Dan@namunye news

Ssenkulu wa KCCA Dorothy Kisaka , omumyuka we Eng. David Luyimbazi Ssali n’eyali akulira eby’obulamu Dr. Daniel Okello bayididdwa okweyanjula ku Kitebe kya bambega ekinoonyereza ku misango ekya CID,  bakiyambeko  mu kunoonyereza ku  bigambibwa nti balagajjalira emirimu gyabwe.

Dorothy Kisaka wakati Eng, David Luyimbazi ne Dr. Daniel Okello

Omwogezi wa poliisi mugwanga Kituuma Rusoke,wabadde ayogerako nebanamawulire agambye nti bano bagenda kweyanjula ku kitebe kya bambega ekibuli kulunaku lwokusatu nga 16 ogwekumi ku saawa satu zeyini ezokumakya bakole sitatimenti era buli omu aweereddwa essaawa zize zaasuubirwa okweyanjulirakoera 

Pulezidenti.Yoweri Kaguta Museveni abasatu bano yabagoba ku mirimu, ku bigambibwa nti baalagajjalira emirimu gyabwe ekyaviirako abantu obasukka mu 30 okufiira mu kasasiiro eyabumbulukuka e Kiteezi.

Pulezidenti Museveni okubagoba yasinzira ku alipoota eyakolebwa Kaliisoliiso wa government,gyeyamulagira okukola oluvannyuma lwa kasasiro okubumbulukuka ku nkomerero y’omwezi gwa July 2024, naaziika amayumba g’abantu.

Emirambo 35 gyejaazuulwa, so nga kiteeberezebwa waliwo abantu abalala abaakuluggusibwa kasasiro, emirambo negitalabika.

Pulezidenti Museveni bweyali agoba abakulu mu KCCA yalagira ekitongole ekinoonyereza ku misango ki CID, kibanoonyerezeeko era kimuwe alipoota ku byekinaaba  kizudde.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *