Bya namunye news
Ab’ebibiina ebiri ku ludda oluvuganya gavumenti okuli ”Alliance For National Transformation” (ANT), UPC ne FDC bisabye akakiiko ka palamenti akekeneenya amateeka ,kagobe ennoongosereza mu tteeka eryayanjulwa omubaka wa Mityana South Richard Lumu, ng’ayagala akulira oludda oluvuganya government mu palamenti akubweko akalulu ababaka bonna abooludda oluvuganya government.
Abakulembeze bebibiina bino ababdde mu kakiiko ka parliament akalondoola eby’amateeka,nebagamba nti ennoongosereza zino zigenda kunnafuta ebibiina by’obufuzi
Gen Mugisha Muntu owa ANT agambye nti singa akulira oludda oluvuganya government akubwako akalulu mu parliament, aggya kuba w’amaanyi nnyo okusinga ekibiina ekimulonda, ekintu kyagambye nti kigenda kutaataaganya entambuza y’emirimu Munda mu bibiina byobufuzi
Asabye palament ereke ebibiina byesaalirewo ku kulonda akulira oludda oluvuganya mu palament
Ssaabawandiisi wekibiina ki ANT, Alice Also asabye akakiiko kagobe etteeka lino, lireme kussomwa mu palamenti omulundi ogwokubiri, nti kubanga singa likkirizibwa okussomwa omulundi ogwokubiri, liggya kuyita ate litaataaganye ebibiina byobufuzi.
Ebbago lyomubaka Richard Lumu, akakiiko lyekali mu kwekeneenya lyagala ekibiina ekisinga ababaka mu palamenti ku ludda oluvuganya government ,kyerondemu amannya g’ababaka 3 bekyesiga, ababaka bonna mu bibiina ebiri ku ludda oluvuganya gavumenti kwebaba balonda anaabeera abakulira.
Ssaabawandiisi wa UPC Fred Ebil agambye nti ebbago lino lijjidde mu kiseera kikyaamu, ebibiina byobufuzi biri mukwetegekera akalulu k’omwaka 2026, kwekusaba akakiiko ka palamenti akabyemateeka nti kalitereke akakulu k’omwaka 2026, kamale okuggwa.
Pulezidenti wa FDC Patrick Amuriat Obbo agambye nti nga FDC baagezaako okulonda akulira oludda oluvuganya mu parliament nga bayita mu kukuba akalulu munda mu kibiina, wabula kaaleka kayabuluzza mu kibiina, nga n’olwekyo singa bakola ekintu kye kimu mu palamenti, kyanditeeka ab’oludda oluvuganya mu kiseera ekizibu.