Bya Mugula@namunyenews.com
Minisitule y’ensonga ez’omundda muggwanga elabudde abagwira okukomya okukola obulimu obutonotono nga obutembeeyi.
Simon peter Mundeyi omwogezi wa minisitule y’esonga z’omunda muggwanga uganda
Omwogezi wa minisitule eno Simon Peter Mundeyi agambye nti baliko abagwira bataano be baakutte nga batambuza ebintu omuli amasowaani ebijiiko n’ebintu ebirala ky’agabye nti kikyamu.
Ategezeeza nti balina enkola y’okuggya ku Bannayuganda endagamuntu zaabwe era abataano basangiddwa n’eziwrako nga bazikozesa ng’emisingo okubawa n’okubalekera ebya’maguzi .
Mundeyi alabudde Bannayuganda okukomya okukozesa abagwira abatalina biwandiiko.