Bya Mugula Dan
Bannabyabufuzi okuva mu bibiina eby’enjawulo omuli ne DP, FDC nabo abali ku lwabwe beegasse ku NUP mu butongole. Mulimu ababaka musanvu okuli; Dr. Timothy Batuwa, David Isabirye Aga Aga, Joan Namutaawe, Patrick Nsanja, Nantongo ow’omukisa, Lukwago mpamaguzi Ssemakula. Abalala kuliko munnamawulire Zambali Bulasio Mukasa nga Pulezidenti wa NUP, Kyagulanyi Ssenmu olwaleero ku kitebe ky’ekibiina e Kavule.

Wano amagye gebunguludde ekitebe kya NUP e Makerere Kavule awaategekeddwa olukung’aana lwa bannakibiina kino era embeera ya bunkenke ddala mu wabweru w’ekitebe n’ebitundu ebiriraanyewo.

Wadde guli gutyo olukungaana lugenda mu maaso munda mu kitebe nga bannakibiina banjulirwa abantu abasaze eddiro okwegatta ku NUP okuva mu bibiina ebirala
Omubaka Dr.TimothyBatuwa agamba singa taweebwa kkaadi ya tayinza kusalawo yekka ku kiddako kubanga bweyabadde ayingira NUP yazze n’abantu bangi nga n’olwensonga eyo aba alina okusooka okubebuzaako okufuna ekyenkomeredde.
Omubaka Lukwago yagambye nti ekyasinze okumusikiriza okuyingira gwe mulamwa ekibiina kwekitambulira era nti bweyali tanakola kino yasooka kwebuuza ku bantu ab’enjawulo nebamukkiriza.
Ono era ategeezezza nti singa taweebwa kkaadi ya NUP tekijja kumuyigula ttama kubanga akyali muto mu byobufuzi nga akyalina obudde obumala okulinda n’okwetereeza.