Bya Mugula Dan
Ababaka b’oludda oluvuganya nga bakulembeddwamu abakulira, Joel Ssenyonyi bagamba bagenda kukuba gavumenti mu mbuga nga bagiranga okuyisa lugaayu mu kiragiro kya Kkooti ensukkulumu ku by’okuzaawo kkooti y’Amagye.

Bano bagamba si kituufu kuyisa tteeka lino mu kupapirira nga abakwatibwako ensonga eno tebeebuuziddwako.
Bino babitegeezezza bannamawulire mu lukung’aana olutudde ku woofiisi ya Ssenyonyi ku Palamenti oluvannyuma lw’okwekandagga nebafuluma Palamenti enkya yaleero.