Abaagobwa ku bibanja batabukidde maneja w’omugagga mu lukiiko.

Bya MUSASI WAFFE.

KASANJE.

ABATUUZE nga bakulembeddwamu Fatumah Nagayi abagobwa ku bibanja byabwe omugagag agamba okugula ettaka kwebaagula batabukidde mu lukiiko n’abakozi bomugagga Alfred Kabucu bebalumiriza okubakwatira ebiso namajambiya okubagobanga ku bibanja byabwe buli lwebabeera baze okubikozesa nga bano babalumiriza okubonoonera ebirime byaabwe byebasaawa wamu n’okubyookya.

Abatuuze mu lukiiko

Bino bibadde kukyalo Bumpenjje-Kitolo muluka gwe Jjungo mu ttawun kkanso ye Kasanjje mu Wakiso abatuuze abasoba mu 50 abaagobwa omugagaga ku bibanja byabwe nga ettaka eririko embererezi liwerako yiika 51 nga yaali lya mugenzi  Yusuf Kalanzi eyali omulamuzi ng’abaana be bebasigala ku ttaka lino eririko obuzibu kati obugambibwa okubeera nga buviira ddala muba famire nga bano bebaaguza abantu abenjawulo ku ttaka lino nga Kabucu kigambibwa nti yagobako abatuuze natekako ab’ebijambiya abalikuuma wamu era nasimbako emiti gyemiyembe, kalitunsi ne kasooli.

Abatuuze nga batabukide Alex ali mu bidugavu

Ssentebe w’ekyalo Bumpenje  Jembozi Mponye yayise olukiiko ku ttaka lino awali enkayana nga yayise abo abaagobwa ku bibanja wamu n’omugagga Kabucu wabula Kabucu teyalabiseeko mu lukiiko okujako abakozibe basatu abaze mu lukiiko nga bakulembeddwamu Alex Bagula nga olukiiko lw’abadde lwakugonjoola nsonga zino okulaba nga bamalawo okusika omugwa wamu n’okulaba engeri y’okuyambamu abo abaagobaganyizibwa ng’ate bagula mateeka.

Abamuku batuuze abagobwa ku bibanja

Olukiiko olwatandise n’abatuuze okulambula ensalo z’ettaka lino ate oluvannyuma ne banjula byebalimanyiko ssaako abalinako ebibanja okulambulula engeri gyebajja ku ttaka eryogerwako nga wano obutakaanya webwajidde oluvanyuma lw’okulumiriza abakozi b’omugagga bano okukola ku batuuze efujjo kata olukiiko luyiike okutuusa ssente weyakakanyiza embeera olukiiko okusobola okugwa.

Hajjati Fatumah ngalya matereke nabakozi ba kabucu ababade mu

Alex Bagura  maneja w’omugagga oluweereddwa omukisa okwogera kwe kulumiriza nga mukama waabwe bwali nannyini ttaaka lino nga bo baalijjako mu 2017 era nga abatuuze bwebalyesibako wabula nga ono tabadde na bikakasa ki kyayogerako.

 Alex Bagula omukozi kabucu

ekijje abatuuze ababadde n’ebiwandiiko nga endagaano ezikakasa nti baagula mu mbeera nebatabukira Alex Bagura nga bwatalina lukusa lw’ogera mu lukiiko luno kubanga ye mukozi aleete mukamwe gwebagamba nti yabekweeka bo tebamulabangako bawulira muwulire.

Bano ensonga bazongeddeyo bwebabaze ekiwandiiko nebyatukiddwako mu lukiiko  kyebatwalidde omubaka wa pulezidenti mu kitundu Patrick Mubiru atuula e Kitende  gwebasabye ayingire mu nsonga zaabwe era n’asuubiza okubayamba okumanya ani nannyini ttaka omutuufu olwo amanye watandikira wamu n’okugenda ku ttaka awali obuzibu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *