Aba RPP basabye abakakiiko keby’okulonda okwekeneenya abajayo empapula zobwa pulezidenti.

Mugula Dan

AB’E kibiina kyobufuzi ekya Revolutionary Peoples Party (RPP) nga bakulembeddwamu pulezidenti wakyo Fred Chemuko Wakuri omukugu eyebuzibwaako ku by’obulamu nga yagenda okubakwaatira fulaaga ku kuvuganya kukifo ky’omukulembeze w’e ggwanga mukulonda kw’omwaka ogujja basabye abakakiiko keby’okulonda mu ggwanga okwekeneenya abo bonna abajayo empapula okuvuganya kubukulembeze bw’e ggwanga nga essaawa zino abasoba mu 100 bamaze dda okujayo empapula zino kyagambye nti kiva kubukwakulizo obunafu obwatebwaawo abatwala eby’okulonda.

Fred Wakuri wakati

Wakuri bino abyogeredde mu lukiiko lwaba deligeeti b’ekibiina kino olutudde ku Converge Hotel e Namugongo banna kibiina webabadde basala empenda z’okulaba nga ekibiina kyabwe kifuna emikono egyetaagibwa okuvuganya ku ntebe y’omukulembeze w’eggwanga wamu n’okutongoza ekipandde Wakuri kyanakozesa nga yesimbyewo nga ba deligeeti bavudde mubitundu bye ggwanga ebyenjawulo.

Ono ategezeza ng’abantu abanji abaze okwesowolayo okuvuganya kukifo kyobwa pulezidenti wekiva kubituli ebiri mu kakiiko kebyokulonda akatekawo obukwakulizo obunafu ekiretedde abamu okujja nga bagaala kulabikako mawulire agamba ekyokugamba okumala S6 tekimala wabula n’obusobozi kikulu kubanga ssente obukadde 20 obwetaagibwa okwesimbawo sibuli agyeeyo empapula nti anaabusobola  wamu n’okufuna emikono mu distulikiti ezitaka wansi wa 98 nga kino kyekimu kubiwadde abantu endowooza nti  waliwo abaleese abantu abamu okwesimbawo nga ye ategezeza nga watali mukiti ekyo kubanga ye abamuleesa banna yuganda abaagala enkyukakyuuka.

Ategezeza nga wasazeewo okwesimbawo okusobola okukola kwebyo omukulembeze aliko byatakoze bulunji nga okumalawo ebula ly’emirimu, okulaba nga obukulembeze buva ebugwa njuba buddeko ebuva njuba bagamba nti babadde basigalidde nnyo emabega mubyenkulakulana asabye banna Uganda okubaniriza nga baze okubafunako emikono nga eyo gyatatuuke ababakikirira gyebali nga baagala emikono bajifune mubwangu aba EC baleme kubekwaasa.

Okwewala abakulembeze abeyagaliza nga tebafudde kukyakuwereza bantu babalonda nebayisaawo birubirirwa byaabwe ng’ategezeza nga ekibiina kyabwe wekiri ku mulamwa gw’ebigendererwa byabanna Uganda

Ye Steven Okiya okua e Parisa ng’agenda kuvuganya kubwa ssentebe wa distulikiti ategezeza nga kano kekaseera abavubuka okulaba nga beyagalira mu ggwanga lyabwe kubanga babadde basigalidde mabega ng’abali mubukulembeze bakusa mbuto zaabwe nga wano wasabidde abavubuka  okwesimbawo mu bukulembeze obwenjawulo nabo basobole okugata etafaali ku ggwanga.

Ekibiina kino kyatandikawo 2013 nga bategezeza nga ebanga lyekimaze betegefu okulaba nga batwaala obukulembeze bwe ggwanga n’okulitwala maaso era bano batongoza ekipandde ky’okukozesa mukalulu kobwa pulezidenti nga omukolo gwetabiddwako banna kibiina okuva mubitundu byeggwanga ebyenjawulo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *