ABA NUP TEMUNYOOMA BAKULEMBEZE MUBEERE BAKKAKKAMU-KATIKKRO MAYIGA

Bya Mugula @namunyenews

Omukulembeze w’oludda oluvuganya gavumenti mu Palamenti Joel Ssenyonyi akuŋŋaanyizza abasajja okukulembera okulwanyisa ekirwadde kya siriimu.

Ssenyonyi wabadde mu nsisinkano ne Katikkiro wa Baganda Charles Peter Mayiga ku Bulange Mango.

Omukulembeze w’oludda oluvuganya yawerekeddwaako Ssaabawandiisi wa NUP Lewis Rubongoya n’ekitundu ku babaka ba palamenti ab’oludda oluvuganya gavumenti nga bawa obuwagizi bwa sillingi obukadde 21 nga okuyambako ku misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka.

Ensimbi ezinaava mu misinde gy’amazaalibwa gano zaakugenda mu kulwanyisa mukenenya.

‘’Tweyama okuwagira emirimu gy’Obwakabaka bwa Buganda kubanga tuli basajja ba Kabaka era abawulize.” Ssenyonyi bwe yategeezezza katikkiro .

Mungeri yeemu Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga y’akikkaatirizza nti Obwakabaka bwa Buganda buggule eri buli muntu awatali kufaayo ku byabufuzi.

‘’Kabaka siwa Baganda yokka wabula wa Buganda kubanga tuli Ggwanga.’’ Katikkiro wabadde  ategeezezza ababaka ba NUP ne Ssenyonyi.

Katikkiro yeebazizza Omukulembeze w’oludda oluvuganya gavumenti olw’okwewaayo mu kukulaakulanya obwakabaka n’asiima obukulembeze bwe obw’ekyokulabirako.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *