Bya Musasi waffe.
KIRA
MUKULONDA ba kkansala abakiikirira abavubuka nabaliko obulemu ku lukiiko lwa munisipaali y’e Kira aba NRM Balaze amaanyi webawangudde ebifo byonna nga tebaganyiza banaabwe abali kuluda oluvuganya okukomba ku kafo konna kwosa n’okuyisaawo abamu nga tebafuna babavuganya nga ekifo kya kkansala omukyala akikirira abaliko obulemu, akiriko teyafuna amuvuganya. nga nekya kkansala w’abakadde omwami n’omukyala abaliyo nga ba NRM balinze kulayira oluvanyuma lwokubulwa absbesimbako nga kino wekiri neku kifo kya kkansala omukyala ow’abaliko obulemu ku Division y’e Bweyogerere Nalunga Gertrude teyafuna amuvuganya.

Mukulonda ekifo kya kkansala w’abavubuka ku lukiiko lwa munisipaali y’e Kira, okuvuganya kubadde wakati wa Ssengendo Bashir owa NRM, Ssozi Brian owa PFF ne Kato Ssentamu owa NUP nga bano Bashir abameze nenkoona n’enywa nga kubalonzi 54 yafunye obululu 42, owa PFF nafuna 9 ye owa NUP nafuna 1 obululu 2 nebufa nga okulonda kubadde ku ssomero lya Kira P/S .
Kyo kukifo kya kkansala omuwala ow’abavubuka, Nakandi Shamim kkansala abaddeyo ng’akiikirira abavubuka ng’abadde talina kibiina kuluno nga yajidde ku kkaadi ya NRM ameze kkansala mune Nakityo Allen… abadde akiikirira ekyalo Ntebetebe ku lukiiko lwa munisipaali y’e Kira nga ono amuwangudde n’obululu 50 ye owa NUP nafuna obululu 2.

Abantu abalone bebo abali ku lukiiko lw’abavubuka ol’omuluka abantu 9 nga Kira ekolebwa emiruka 6 nga bebavubuka 54 ab’etabye mukulonda kuno nga abawanguzi balangiriddwa akulira eby’okulonda mu distulikiti y’e Wakiso Tolbert Musinguzi.
Bashir nga ye mukulembeze w’abavubuka ku lukiiko lw’ekyalo Kireku Main wamu nemu Division y’e Bweyogerere era akulembera abavubuka abasiraamu mu Kira ategezeza nti olw’ebintu ebirabwaako byakoledde abantu wamu n’abavubuka kyekimu kubimutuusiza kubuwanguzi ng’abaubuka abawerako asobodde okubayunga ku mirimu ejiri mu makolero agali mu Namanve, okukwatagana ne banna Rotary okuwa abavubuka emisomo gy’emirimu gy’eby’emikono wamu n’okutumbula eby’emizannyo ng’ayit mu kibiina kya Takuwa Soccer Academy nga muno waliwo abavubuka abasoba mu 50 abafunye okuyambibwako kukusoma nga bayitira muby’emizannyo byeyatandikawo nga ono asuubuzi abavubuka wamu nebanna Kira okubawereza obulungi nga takulembeza bya bufuzi wabula okulaba nga ssente ya gavumenti etuukira ddala ku muntu alina okujifuna nga kukya PDM ebitundu 30 ku 100 ebirina okudda mu bavubuka wakubirondoola okulaba nga baziganyulwamu n’okulaba ng’agata abavubuka bonna mu Kira okuba nga balina edoboozi limu nga wakulondoola okulaba ng’abavubuka bafuna kyenkanyi ku mirimu ejirina okufunibwa ku munisipaali eno nga wakufuba okulaba ng’atandikawo SACCO eyawamu ey’abavubuka mu Kira mwebanaayita okufuna obugabirizi.