Aba kulira enkola ya Dark Operation Matters batandise okugogola ttooyi mu Kampala.

Bya Namunye

Ba kulira enkola ya Dark Operation Matters batandise okugogola ttooyi mu Kampala.

 Fred Kinene

Akulira ekibiina kya Operation Dark Mattres , Fred Kinene yebazizza Gen Salim Saleh akulira enkola ye operation Wealth Creation okubawa omukisa nebatandikawo enkola mwebagenda okuyita okuyonja ebitundu bya Kampala.

Kinene ategezezza nti baatukirira Gen Saleh ,  nebamubulira okusomooza abantu abasula mu division 5  ezikola Kampala kwebayitamu olw’obucaafu obuyitiridde mu bitundu mwebawangalira , nakwattirako nebatandikawo ekibiina ekyo mwebagenda okuyita okugogola kabuyonjo zonna ezajjula  nekigendererwa oky’okumalawo  obucaafu mu Kampala .

Ayongeddeko nti ttooyi zonna bagenda kuzinunamu ku bwerere ,nasaba abatuuze okukwatagana n’abakulembeze babwe naddala aba NRM babategeeze awali ttooyi ezetaaga okulongoosa bagye bakole omulimu., nga mu kusooka batandikidde mu division za Kampala okuli Kampala Centaral, Kawempe, Nakawa ne Lubaga eyo gyebanava okusoga ebitundu ebirala awali ttooyi ezajjula nazo baziyonje.

Ate Panado Katumba akola mu ofiisi ya minisita wa Kampala, naye yebazizza aba kampuni ya Dark Operation Matters okutumbula obuyonjo mu Kampala kubanga kigenda kukendeeza ku ndwadde ezekuusa ku bucaafu eziyinza okukwata abantu, y’ensonga lwaki naye yasazeewo okuzimbira abatuuze b’e Kamwokya ttooyi ey’okulembe mu kawefube w’okutumbula obuyonjo mu bantu.

Ayongeddeko nti enkola y’okuyonja ebitundu yeemu ku nkola esobola okukuuma abantu nga bayonja nebeyagalira mu ggwanga lyabwe nebagaggawala olw’okuba ssente zebakola zonna tezigwera mu malwaliro nga bejanjaba enddwadde.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *