TEMUNKANKAKANGA; LWAKI ABANENE MU URA KATONO BEEFUKIRE NGA M7 ABABOGGOLEDDE!

Bya namunyenews

Abasuubuzi abaalabye Pulezidenti Museveni e Kololo ng’asisinkanye abasuubuzi ku Lwokubiri, baalozezza ku busungu bwe, bwe yabatabukidde nti, “Nze temunkanga kanga, mmaze essaawa ezisoba mu 2 nga mbawuliriza, ebituufu n’ebikyamu nga mpandiika

” M7, teyakomye kwecwacwana eri abasuubuzi, wabula yatuuse ekiseera ng’abakungu ba URA, abawooza omusolo buli ajja amuboggolera, “Tonyumiza biboozi, lwaki olandagga, mbuulira engoye n’ebintu ebirala abasuubuzi bye basuubula mu sisitiimu munaabiteekamu ddi? 

Lwaki kibatwalira ebbanga eryo lyonna?” M7 eyabadde ayogera Olungereza nga Dr. Hilary Musoke Kisanga nga bwamuvvuunulira bwe yatabuse.

 Ng’abavubuka, bwe bagamba, Musinguzi yajuliridde ettaka okwagala okumumira, mukamaawe ng’amutabukidde, olwo banne ne bajja okumutaasiza mu ‘muguwa’ M7 mwe yabadde amufundirizza.

 Wabula abategeera M7 bagamba nti ng’aliko ekimunyizizza,ababeera mu Stat House bategeerera ku ngeri gy’afuuwamu Oluswayiri, ate nno omusajja w’ekikoofiira nga yatabuse, olumu bakkomando be aba SFC amanyi okubasuna n’okubayisaamu empi nga bwababoggolera.

 Abategeera M7, bagamba nti obusungu bwe, baasinga kubutegeerera we waaliwo obwegugungo bwa 2009, Kabaka wa Buganda, Ronald Muwenda MUTEBI, bamale bamugaane okugenda mu ssaza lye erye Bugerere.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *