Bya namunyenews
Nga omu kukawefube owokwongera okulwanyisa akawuka akaleeta Mukenenya Uganda yakwegata Ku nsi yonna Okukolereza Omusubawa nga emu kunkola eyokujukira abaffa akawuka akaleta Mukenenya.
Era nga olunaku lwokukuma Omusubawa luno lukuzibwa buli nga Mwenda ogwokutano, Wabula Uganda yakulukuza nga 17/05 nga ebikujuko ebikulu byakuyindira mu kubuga ekye Hoima.
Bwabadde ayogera mulukungana lwa banamawulire ku Media Centre mu Kampala, Minister Omubeezi owa Kampala Kabuye Kyofatogabye agambye nti Mukenenya akyegirisa mu ggwanga era nasaba abatanakafuna okuketangira ate era nabakalina okugoberera amateeka ga basawo.
Wano era ne Dr Daniel Byamukama okuva mu kakiiko akalwanyisa Mukenenya aka Uganda Aids Commission agambye nti abantu bangi bakyakwatibwa Akawuka ka Mukenenya nga nekisinga okwenyamiza be baana abato abawala abali wakati we myaka 15 ne 24 olwo no nebadirira abasajja abawuulu.
Ono ategeezeza nti abaan abalezi abalina mukenenya bakola ebitundu 21 ku buli kikumi ate abawala bakola ebitundu 70 buli kikumi
Mungeri ne Sara Naku okuva era mu kakiiko ka Uganda Aids commission akubiriza banauganda okugenda mu maso no kwekuuma akawuka ka sirimu nti kuba eddagala erikawonyeza ddala terinalabika nga nawankubadde kawefube wokulifuna agenda mu maso.