Minisita .Jacob Oboth Asisinkanye Omubaka wa Amerika mu Uganda William Popp, Asabye Enkolagana Eyesigamiziddwa ku okwesigagana

Bya namunyenews

24 Omwezi gw’okuna 2024

Minisita w’ebyokwerinda n’abaazirwanako, Honorable Jacob Marksons Oboth asisinkanye omubaka wa Amerika mu Uganda, William W. Popp, olwaleero ku kitebe kya minisitule y’ebyokwerinda n’abaazirwanako e Mbuya.

Minisita Oboth yeebazizza gavumenti ya y’amerika. olw’okuwagira eby’okwerinda mu kitundu kino n’okulwanyisa obutujju. Yategeezezza nti wabaddewo enkulaakulana nnyingi mu kulwanyisa ekibinja ky’abayeekera ekya “Allied Democratic Forces” (ADF)

Owek. Oboth yasabye okutumbula enkolagana wakati w’amawanga gombi nga yesigamye ku kwesigagana.

Omubaka wa Amerika mu Uganda William W. Popp agambye nti America yeewaddeyo okukolagana ne Uganda okuwa obuwagizi obw’awamu mu kugonjoola emirembe.

Yasiimye amagye ga Uganda ag UPDF olw’okulaba ng’ebyokwerinda n’emirembe bibaawo awaka ne mu kitundu kino naddala mu kutebenkeza Somalia

Omumyuka w’akulira amagye, Lt Gen Sam Okiding, yategeezezza nti okukuuma emirembe n’obutebenkevu ebituukiddwaako mu Somalia, okuvaayo kyetaaga okuddamu okulowoozebwako omulimu gwa ATMIS so si kuvaayo kuba kiyinza okuleetawo okudda emabega mu nkulaakulana yonna ekoleddwa mu omulimu gw’okukuuma emirembe.

Omuwandiisi ow’enkalakkalira, Mukyala Rosette Byengoma naye yeetabye mu lukiiko luno.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *