ABAZIGU AB’EMMUNDU BALUMBYE BBANKA Y’ EQUITY ETTABI ELYE SOROTI 

Bya mugula @namunye news

Omukuumi akuumirwa oluvannyuma lw’okuzingiza bbanka mu ngeri ey’ekyama e Soroti

Abazigu ab’emmundu balumbye bbanka ya Equity ettabi elye Soroti mu kiro ekikeesezza olwaleero n’ekigendererwa eky’okunyaga ssente. Kino kireesewo obunkenke mu kitundu ab’ebyokwerinda abawanvu n’abampi bwebayiiriddwa okwetoloola ekibuga Soroti okutaasa embeera. 

Amagye ga UPDF ne poliisi gombi gaayiiriddwa, ne kireetawo obukeke obwamanyi mu kibuga Soroti

Amawulire galaga nti waliwo ekibinja ky’ababbi abasobodde okwesogga ebifo bya Equity Bank,

Ab’obuyinza baky’agenda mu maaso n’okuziyiza embeera eno, akalippagano kebidduka ku nguudo ennene mu kibuga Soroti ekyaleetedde abasabaze n’abaaliwo obuzibu.

Wabula tewali muntu yenna ayingiziddwa munda mu bbanka ng’ebyokwerinda bakunya omuserikale w’ebyokwerinda abadde ku mulimu.

Omukuumi akuumirwa oluvannyuma lw’okuzingiza bbanka mu ngeri ey’ekyama e Soroti

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *