Bya mugula @namunyenews
Omuyimbi Bobi Wine akubye Intercontinental Arena London mu Bungereza n’agijjiuza n’asirisa ababadde babuusabuusa amaanyi ge mu ndongo.
Okuva Bobi Wine bwe yalangirira nti agenda kutegeka ekivvulu mu London e bugereza,Arena Intercontinental abawagizi ba NRM bangi baatandika okwogera nti kyali kyakumusala olw’engeri gy’azze yeeyisaamu mu byobufuzi ebivumirira Gen.Museveni mu Uganda.
Kyokka ku lwomukanga ssaawa zaagenze okuwera 1:00 ez’ekiro ezawano mu Uganda nga emiryango gya Arena gyaggadwa olw’ abantu ababadde bajjudde mu Hall ekivvulu Kya Bobi ekya The return of the Gladiator mu London mu Bangereza
Bobi Wine yayingiddewo ku ssaawa 11:30 ez’ekiro ezawano mu Uganda ng’ awerekeddwaako abayimbi nga bakozeseza egimu Ku miryango abadigize gye baayiseemu ng’ abantu baamwekanze abyitamu olwo enduulu n’ eraya.
Amangu ddala yabase akazindaalo n’ atandikira Ku kayimba ka Nalumansi olwo ate enduulu n’ eddamu buto.Yayimbye ennyimba okwabadde Wendi, Specioza, For better for worse, Time Bombo , Freedom olwo abadigize ne basumulukuka emikono ne batandika okumufuuwa ssente.
Abayimbi ababadde mu kivvulu kino nga nabo baayimbye kwabadde Big Eye, Gen Mega Dee, Nubinli, Dj Bernardo nabalala.
Bobi Wine yagambye nti eby’ okuyimba yali abyesonyiye wabula omukwano gwe bamulaze gwongedde okumuwa amaanyi.
Abanene mu Landon tebalutumiddwa mwana mu kivvulu kino
Bobi Wine ebyayambeye okujjuza: Bobi Alina ennyimba ezikwata ku buli muntu mu mbeera zonna yaziyimbye wadde ng’ ezimu zikoona gavumenti ya Gen Museveni.
Abategesi baalanze abayimbi ab’ omuzinzi bangi era ekivvulu kyalangiddwa nnyona ku mikutu egya “social media”