Bya namunyenews
Omukulembeze w’oludda oluvuganya mu Palamenti Joel Ssenyoni tagenda kulekerawo kusaba bavunaanyizibwa ku nsimbi za gavumenti .
Ssenyonyi ekirayiro kino yakikoledde mu kusaba kwa Ssande ya Paasika ku St.Yusufu Lugalama Church of Uganda, Bbuye -Kigoowa Parish, Ntinda gye yeegasse ku bikumi n’ebikumi by’abakkiriza .
‘’Wadde nga waliwo okutiisatiisa kungi, sijja kulekera awo kusaba bavunaanyizibwa ne mu Palamenti. Abantu abamu bagamba nti sisanye kweyisa nga nze omukulembeze w’oludd oluvuganya mu palamenti asooka. Amazima si nze asoose era sijja kusembayo, naye nga ndi mu ofiisi eno nja kutuukiriza ekiragiro kyange ekya okukuuma gavument nga eteredde Ssenyonyi bwe yagambye .
Okusinziira ku kitongole kya kalisoliiso wa gavumenti “IGG”, gavumenti efiirwa kumpi obuwumbi 10 buli mwaka olw’obuli bw’enguzi.
‘’Amasomero n’amalwaliro bimeka ebiyinza okuzimbibwa nga bakozesa ensimbi zino .’’Ssenyonyi bwe yabuuzizza .
Omukulembeze w’oludda oluvuganya yawaddeyo obukadde bwa sillingi 2 okuzimba ekkanisa empya