Omulamuzi wa kkooti esookerwako atabukidde omuwaabi wa gavumenti

Bya Mugula Dan

Omulamuzi wa kkooti esookerwako e Kanyanya, Damalie Agumaasimwe atabukidde Omuwaabi wa gavumenti, Bruce Tujjebe olw’okugenda mu maaso n’okukwata bannakibiina ki NUP  nga babongera ku musango gw’okukola dduyiro wekinnamagye oguvunaanibwa Waiswa Mufumbiro ne banne.

Ono kwavudde okutabukira oludda oluwaabi kiddiridde munnamateeka wa bavunaanibwa bano, Kakuru Tumusiime okwemulugunya olwa gavumenti okwongera abavunaanibwa abalala ku musango guno kyokka nga gavumenti yategeeza nti okunoonyereza kwagwa dda era basabye omusango guno gugobwe kubanga abavunaanwa ne bannamateeka baabwe tebalabangako ku babavunaana nga bazze mu kkooti eno.
Kati bano baakuddizibwa mu kkooti nga 5 omwezi ogujja, Omulamuzi awe ensala ye ku nsonga eno.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *