Bya Mugula Dan
Poliisi y’ebidduka efulimizza alipoota ku mbeera y’ebyentambula mu kiseera ky’eggandaalo ly’ennaku enkulu zetukubye amabega.

Poliisi etegeezezza nti wakati wa 22 ne 28 Decembere tewabaddeewo nnyo bubenje butiisa nnyo okujjako akamu akaafiiramu abantumusanvu abaalibatambuliramu mmotoka emu e Njagalakasaayi mu district y’e Lwengo nga 27 December.
Omwogezi wa Poliisi y’ebidduka Michael Kananura agambye nti newankubadde embeera ebadde bwetyo waliwo abaamenya amateeka g’okunguudo 154 bebaakutte nebaggalira.
Bano kuliko ababadde bavuga nga tebalina license, abatamiivu, okuvugisa ekimama, okutikka akabindo n’ebirala.