Bya Mugula Dan
18/11/2025
Ab’ekitongole kya gavumenti ekirwanyisa obulwadde bwa ssiriimu mu Uganda, ekya Uganda AIDS Commission beeyanzizza nnyo Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni olw’amaanyi g’atadde mu kaweefube w’okulwanyisa nnawookeera wa ssiriimu.

Ng’ayogera n’ebanamawulire ku media centre mu Kampala Ssenkulu wa Uganda AIDS Commission Dr.Nelson Musoba yagambye nti kaweefube ono bwayimiridde okuva Pulezidenti Yower Kaguta Museveni lweyamuwomamu omutwe.
Yategeezezza nti omulimu ogukoleddwa gwa ttendo nnyo, era nebamusaba gwongere okusesebwamu.
Mu alipoota abakulu gyebaanjulidde egwanga balaze nti okusaasaana kwa ssiriimu mu Uganda kukendedde era nebalaga essuubi nti ssinga abantu tebasuula ngabo, ssiriimu wakulinnyibwa ku nfeete.
Wabula balaze okutya olw’omuwendo gw’abaana abakyazaalibwa n’akawuka, nga mu mwaka oguwedde 2024 gwokka abaana 4700 baazaalibwa n’akawuka, nebasaba wabeewo eky’amangu ekikolebwa ku mbeera eno.
Ate UNAIDS country Director Jackie Makokha mububaka bwe, azzeemu okusaba abantu ba Uganda okusitukiramu beenyigire mu lutalo luno ssekinnoomu, n’okuddamu okusaba abasajja okuba abasaale mu kulwanyisa obulwadde bwa mukenenya.
Mu mbeera eno, aba Uganda AIDS Commission bazizza buggya endagaano y’obwasseruganda n’Obwakabaka bwa Buganda okutuusa 2030 nga bakolagana mu kulwanyisa mukenenya.

Dr. Ruth Ssenyonyi yategeezezza nti ebitundu mu Buganda ebinokoddwayo ng’ebikyalimu ennyo siriimu kuliko Kyotera, Buikwe, Wakiso, Mukono, Nakaseke n’ebizinga naddala Buvuma.