Bya Mugula Dan
Gavumenti okuyita mu ministry y’ebyensimbi n’okuteekerateekera eggwanga efulumizza ensimbi obuwumbi 259 eza Parish Development Model ez’omwaka gw’ebyensimbi 2025/26.

Minister w’ebyensimbi Hon Matia Kasaija agambye nti okutandika n’enkya nga 19 November SACCO z’emiruka 10,589 okwetoloola eggwanga zaakutandika okufuna ensimbi zino buli muluka obukadde 50.
Kasaija ategeezezza nti kasookedde enteekateeka eno etandika, gavumenti yaakagiteekamu ensimbi obutabalika busatu n’obuwumbi 216.

Kitegeerekese nti SACCO zino zonna buli emu yakaweebwa obukadde bw’ensimbi 300.