Kkooti ewulira emisango gy’abakozi mu Kampala egobye omusango gwa Yusuf Baliruno.

Bya Mugula Dan

Kkooti ewulira emisango gy’abakozi emanyiddwa nga Industrial Court of Uganda egobye omusango gwa Yusuf Baliruno gweyawaabira Radio CBS ng’alumiriza nti yawummuzibwa ku mulimu mu bumenyi bw’amateeka.


Mu nnamula y’abalamuzi bana nga bakulembeddwamu Justice Anthony Wabwire bategeezezza nti Baliruno teyali mukozi wa CBS wa nkalakkalira kale nga yali tateekeddwa kuganyulwa yadde okuyisibwa ng’abakozi abalala ab’enkalakkalira.


Okusinziira ku bujulizi obwesigamiziddwako ennamula eno, abalamuzi baamatidde nti Baliruno yali muweereza wa Program z’ebyemizannyo n’okusaka amawulire g’ebyemizannyo era ng’asasulwa olw’omulimu oba amawulire g’aba asase, kale nga tewaali ngeri gyalina kubeera ng’abakozi abalala ab’enkalakkalira.


Ennamula eno kkooti yagiwadde nga 7 omwezi guno ogwa November 2025.
Yusufu Baliruno yaddukira mu kkooti mu 2020.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *