Ssaabaminisita Nabbanja Alagidde Abasuubuzi Abaakoseddwa Baliyirirwe

Bya Mugula Dan

Bya Mugula Dan

Ssaabaminisita Nabbanja agumizza abasuubuzi abaafiirwa emmaali yaabwe mu mazzi agaayanjaalira mu maduuka gaabwe mu kibuga Kampala nti ensonga zaabwe President KagutaMuseveni yazitegedde era agenda kuzikolako mu bwangu.


Nabbanja abadde ne Ssenkulu wa KCCAUG  Buzeki Sharifah  mu kulambula abasuubuzi abaafiirwa emmaali n’abasaasira nnyo n’agamba nti gavumenti tegenda kutunula butunuzi ku nsonga eno, wabula yaakubaako eky’amangu kyekola.


Mu mbeera yeemu gavumenti eragidde omugagga Hamis Kiggundu okwongera okutereeza mu nzimba y’omwala gw’e Nakivubo naddala ng’agaziya ku miwaatwa egiyingiza amazzi omutawaana ogwaliwo jjuuzi guleme kuddamu.


Abasuubuzi abaasinga okukosebwa amazzi gano kuliko abakolera mu bizimbe okuli; Nana, Ssekaziga Totala trading center, Qualicel n’ebiriraanyeewo.
Ssaabaminisita era asabye ba yinginiya ba KCCA okubeerawo ng’omulimu gwokuzimba gugenda mu maaso waleme kubaawo nsobi ekolebwa.
Babadde ne minisita wa Kampala Hajjat Minsa Kabanda.

Era Nabbanja alagidde Omugagga KiggunduHamis okwerula emikutu egiyiwa amazzi mu mwala gwe Nakivubo kisobozese amazzi okuyingira mu bungi mu mwala guno kitangire amataba aganjaalira mu kibuga buli nkuba lwetonnya ekiviirako abantu okufiirizibwa.


Ono era akkirizza omulimu gw’okuzimba omwala guno okugenda mu maaso ng’ensonga y’emikutu bwekolwako.
Nabbanja abadde alambula abasuubuzi abaafiiriddwa emmaali mu mataba n’okulaba omulimu gw’okuzimba omwala gwe Nakivubo wegutuuse.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *