Bya Mugula Dan
Abasuubuzi b`omu Kampala abaakoseddwa amataba agaayingidde mu maduuka gabwe nga 31 October,2025 bakulukusizza amaziga nga battottola ennaku gyebayitamu, babadde basisinkanye abakulu abaddukanya ekibuga Kampala.

Ensisinkano eno ebadde ku City Hall mu Kampala, ng’ekubiriziddwa Lord Mayor wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago, yetabiddwakoSsenkulu wa KCCA Hajjat Sharifah Buzeki, RCC wa Kampala Hajji Lule Mawuya, ba Director ba KCCA n’abalala.
Ssenkulu wa KCCA Hajjat Sharifah Buzeki ategeezezza abasubuuzi nti agenda kusindika ekibinja ky’abakugu bakwatagane ne bannyini madduuka abakoseddwa, ekitabudde abasuubuzi nebamutegeeza nti ekizimbe kiba tekinaggwa kuzimbibwa nga waliwo abanene mu government abakyekwata, era bbo abasubuuzi abalimu bapangisa ku bantu abatafaayo ku basuubuzi abaabulijjo.

Bagamba nti okufuna obwanannyini mu dduuka wetaaga okugula ekiyitibwa ‘good will’ ekintu ekitasoboka ku muntu wa bulijjo.
Abasubuuzi era basinzidde wano nebasaba KCCA ebanyonyole lwebagenda okuliyirirwa, era bakole ekisoboka okutangira amazzi obutaddamu kubayingirira.
Abasubuuzi abakoseddwa era basabye KCCA eragire abagagga bannanyini bizimbe basooke balindeko okubasaba ssente z`obupangisa wamu ne Bank ezibabanja.
Abasubuuzi bano bongeddeko nti tebagala kuwulira kintu kyonna, wabula bagala kimu kubaliyirira.
Batadde KCCA ku nninga ebanyonyole olw’okwefuula etamanyi madduuka gabwe, ate bwegutuuka mu kunoonya omusolo olwo nebabatukaako ku buli dduuka ne mu sitoowa zabwe neetuukayo ate mu bukambwe obuyitirivu.
Ebyo nga biri bityo, abasuubuzi abamu baddukidde mu kooti enkulu mu Kampala, nebabawaabira ekitongole ky’ebyobutonde bw’ensi ki NEMA ne KCCA, byebalumiriza nti byebyawa Omugagga Hamis Kiggunddu olukusa okuzimba ku mwala gwa Nakivubo ekyaviiriddeko amazzi okubulwa gyegalaga negagwera mu bizimbe n’amaduuka gabwe negonoona emmaali yabwe.
Abagenze mu kooti bakulembeddwamu akulira ekibiina ekitaba abasuubuzi ki Kampala Arcaders Traders Association Katongole Godfrey, nebagamba nti ekireese obuzibu ye mugagga Hamis Kiggundu okuva ku plan gyeyawa president Museveni ey’okukulaakulanya omwala gwe Nakivubo, naazimbako ebintu ebirala ebyalemesezza amazzi okutambula.
Kati bagala kooti eyimirize enteekateeka zonna ezokuzimba ku mwala ogwo, ate era ne Hamis abaliyirire.
Munnamateeka akulembeddemu omusango guno Kasule Mpologoma, agambye nti balina essuubi nti abasuubuzi baakufuna obwenkanya okuva mu Mbuga z’amateeka.