Poliisi mu Kampala ekyanoonyereza ku nfa yomuwala Nalubwama ey’afiiridde ow’omugagga Bryan White

Bya Mugula Dan

Poliisi ekyanoonyereza ku nfa y’omuwala Caroline Nalubwama agambibwa okufa oluvannyuma lw’okufunira ebisago eby’amaanyi mu maka g’omugagga, Bryan Kirumira amanyiddwa nga Bryan White e Kyamula mu diviizoni ye Makindye mu Kampala.

Kigambibwa nti ebisago ebyaviiriddeko Nalubwama okufa byava ku kubwatuka kwa ggaasi ku Mmande ya wiiki eno ng’olwabifuna, yaddusibwa mu ddwaliro e Kiruddu gyeyafiiridde olunaku lw’eggulo.

Luke Owoyesigire

Amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire ategeezezza nti abakugu mu kunoonyereza baatuuseko mu maka ga Byran White nebeekebejje ekifo era Poliisi yafunye n’obutambi obwakwatiddwa kkamera ezetoolodde kifo kino nga buno bujja kubayambako okuzuula ekituufu ekyabadewo.

Mu kadde kano Byran White ajjanjabibwa mu ddwaliro lya Mildway e Lweza nga kigambibwa nti naye yakosebwa mu kubwatuka kwa ggaasi okwogerwako.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *