Gen: Otafiire alagidde Ssaabaduumizi wa Poliisi amuwe alipoota kubyabadewo mu wooteeri omwasuze Pulezidenti wa NUP

Bya Mugula Dan

Minisita w’ensonga ez’omunda mu ggwanga Maj Gen Kahinda Otafiire alagidde Ssaabaduumizi wa Poliisi Afande Abas Byakagaba amuwe alipoota ettottola akana n’akataano ku kyaleetedde abaserikale be okulumba wooteeri mu kibuga Lira omwasuze President wa NUP Hon Robert Kyagulanyi Ssentamu nebakola effujjo n’okubaako abawagizi ba Kyaguanyi bebaakutte.

Mu kiro ekikeesezza leero, waabaddewo akavug vungano ku Lira City Hotel mu kibuga Lira, abaserikale bwebaasazeeko wooteeri eyo omwabadde Kyagulanyi n’abamu ku bawagizi be, wabula nga tebalina nsonga gyebaawadde yabalumbizza.
Kaakano Maj Gen Otafiire ayagala IGP Byakagaba annyonnyole ku kikolwa kino kubanga yali yabagaana okukola ebintu ebifaanan bwebiti.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *