Bya namunye
Ekitongole ekivunanyizibwa kuwandisa ndangamuntu mugwanga ki NIRA kitegezezza nti endagamuntu empya eziwera obukadde bu 5 zatuuse dda mu bitundu bye ggwanga ebyenjawulo, era baddembe okugenda ku office za NIRA mu bitundu byabwe okuzifuna.

Clare Ollama
NIRA emaze emyezi egisoba mu 6 ng’ewandiika abantu okuzza obuggya endagamuntu zabwe, ezaatandika okugwako mu November,2024.
Mu mbeera enno amaloboozi gabadde mangi okuva mu bannauganda nga bebuuza endagamuntu zabwe lwezinafuluma, nti kubanga balina okwetaba mu kulonda omwaka ogujja 2026 saako okuzikozesa mu bwetavu obulala.
Mu lukuηaana lwa banamawulire olutudde ku Kitebe kya police e Naguru, omukungu mu kuwandika abantu mu NIRA, Clare Ollama agambye nti endagamuntu z’abantu abasooka okwewandisa zaafulumye, era baddembe okugenda ku bitebe bya NIRA mu bitundu byabwe, okuzifuna.
Awadde eky’okulabirako, district nga Adjumani endagamuntu emitwalo 27,800 zatuuka dda, kyokka abantu 900 bebaakanonayo ezaabwe, mu Amudati NIRA egamba nti ku ndagamuntu 9,800, bakatwalako 1000 lwokka.
Mu district ye Marach endagamuntu 3000 weziri ku district, wabula abantu 40 bokka bebakanona, sso nga mu district ye Lwengo emitwalo 24,000 zasindikibwa dda, naye abeeno 3000 boka bebakagenda okufuna ezabwe.
Clare Ollama agambye nti abagala okufuna ndagamuntu zabwe mu bwangu bagende ku district mu bitundu byabwe bafune endagamuntu empya.
Mungeri yemu NIRA ezzemu okulabula abantu abakozi baayo abakyagenda mu maaso n’okuwandisa abantu mu bitundu ebyenjawulo, okukomya omuze gw’okujja ssente ku bantu okubawa empapula zebajjuza okwewandiisa.
Clare agambye nti abamu ku bakozi babwe basaba abantu 10,000 okubawa empapula sso nga zabwereere, nababawa amagezi okweddako.
Bannauganda abasabye obutakkiriza kuwaayo ssente zino, nti basobola okugenda ku mutimbagano gwa NIRA empapula zino kweziri ne bawona okubbibwa banakigwanyizi