DF ya Mpuuga eyise abammiddwa Kaadi mu NUP

Bya Mugula Dan

Ekibiina ki DF kikoowodde bannabyabufuzi abagudde mu bumyufu bw’ebibiina ebirala nga NRM ne NUP okubeegattako okuvuganya ku kkaadi yakyo mu kalulu ka 2026 ku bifo eby’enjawulo.


Mu mbeera eno ekibiina kyongezaayo ennaku z’okusunsula abeegwanyiza ebifo okuwa omukisa bannabyabufuzi bano.
Bino byogeddwa akulira eby’okulonda ku kibiina ki DF, Henry Lubowa enkya ya leero ku kitebe ky’ekibiina mu Kampala.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *