Bya Mugula Dan
Omuwabuzi wa Pulezidenti ku nsonga z’ebbendobendo lye Masaka, JustineNameere yegaanye eby’okuba n’omukono mu bulumbaganyi obwakoleddwa ku muwabuzi wa Pulezidenti, Jennifer Nakangubi amanyiddwa nga Full Figure.

Nameere agamba akatambi akatambuzibwa ku mutimbagano omuwulirwa eddoboozi erigambibwa nti lirye kaagattiddwa mu nkola ya tekinologiya eya ‘AI’ nti era teyabadde ye.
Wano wasabidde Ssaabadduumizi wa Poliisi, Abas Byakagaba okwekennenya ensonga eno.