Bya Mugula Dan
Bakansala abatuula ku Lukiiko lwa KCCA batuuzizza olukiiko okukubaganya ebirowoozo ku mwala gwe Nakivubo omugagga Kiggundu Hamis amanyiddwa nga Ham gweyakubyeko ebibaati.

Olukiiko luno essira lirutadde ku bigambibwa nti lwerwawa Ham obuyinza okukulaakulanya omwala guno.

Ono Loodi Mmeeya wa Kampala EriasLukwago alagidde ekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga Kampala ki KCCA wamu n’ekivunaanyizibwa ku kukuuma obutonde bwensi ki nema okuyimirizabunnambiroomulimu gw’okuzimba ku mwala gwe Nakivubo oguli mu kukolebwa omugagga KiggunduHamis.

Lukwago asinzidde mu lukiiko lwa kkanso ya KCCA olutudde enkya ya leero mu Kampala.