Bya Mugula Dan
Ngenda kumegga Anita Among ku ky’abakyala mu kibiina ki NRM mu kalulu ka CEC
Eyeegwanyiza ekifo ky’omumyuka wa Ssentebe wa NRM ow’Abakyala RebeccaKadaga asambazze ebiyiting’ana ku mutimbagano nti yavudde mu lwokaano lw’okuvuganya ku kifo kino lwalimu ne Sipiika wa Palamenti, AnitahAmong .

Kadaga agamba nti wadde waliwo ebituukiddwako nga abakyala mu kibiina ki NRM mu myaka 20 agayise wakyaliwo obwetaavu okulaba nti abantu mu Uganda beenyigira mu nteekateeka z’ekibiina.
Ono era yalaze okutya olw’okuba waliwo ba n’akibiina ki NRM abeenyigidde mu nteekateeka eyonona e NRM nga bayiwayiwa ssente kyoka nga Bannayuganda tebalina kyebalya asinzidde wano nasaba kino kitereezebwe mu kibiina

Kadaga agamba bino bikolebwa abo abamuvuganya okumalamu abawagizi be amaanyi. Ono bino abyogeredde mu lukung’ana lwa bannamawulire ku woofiisi ye Kingdom Kampala