Bya Mugula Dan
Akakiiko k’amaka g’Obwapulezidenti akalwanyisa enguzi ka Anti Corruption Unit wamu n’ekitongole kya Poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango ki CID ne woofiisi ya Ssaabawaabi wa gavumenti
kakutte omuwandiisi w’ekibiina ky’obwegassi ki Uganda Liberal Teacher’s Union Members SACCO, Twinomujuni Nathan Kakson, ne kamusimba mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road lwakufuna ensimbi ezisoba mu kawumbi kamu n’obukadde 300 mu lukujjukujju.
Ono omulamuzi amusindise ku alimanda okutuusa nga 3 omwezi ogujja.

Kati ono yeegasse ku Ssentebe wa SACCO eno, Mutesaasira Evans Kaganizo n’omusuubuzi Esiingwa Hassan Maganda nga ye nnanyini kampuni ya Hansem Technical Services Limited abavunaanibwa okukozesa obubi ssente obuwumbi 3.6 ku buwumbi 20 gavumenti zeyateeka mu SACCO eno.

Okusinziira ku lisiiti ezizuuliddwa kigambibwa nti Ssentebe wa SACCO eno n’omuwandiisi we baalina ettaka lyebaagula mu munisipaali ye Kiira nga lino baaligula ensimbi 1.3, n’eddala eritaminyiddwa nga lino libalirirwamu obugazi bwa yiika 500 mu disitulikiti ye Kikuube nga lino lyagulwa obuwumbi 2.75 era ensimbi zino zaasasulwa mu bitundu nga zigenda butereevu ku akawunti ya Hassan Maganda

Mu ngeri yeemu, waliwo empapula eziraze nti waliwo emmotoka ezaagulwa ensimbi obukadde 250 okuva mu kampuni ya Hansem Technical Services and motor vehicles.