Bya Mugula Dan
Banna kibiina kya NUP abayaayaana okukwatira ekibiina kyabwe bendera ku ky’omubaka omukyala owa Kampala; Hon ShamimMalende ne Sipiika wa KCCA ZahrahLuyirika basisinkanye ku kitebe ky’ekibiina nebeeyama okusoosowaza ensonga z’obumu n’ekibiina kyabwe.

Ababiri bano bawabudde abawagizi baabwe naddala ab’okumutimbagano ababadde batandise okwejjirayo ebiso okukkakkana ekibiina kisalewo anaakikwatira bendera.
Abakulu mu kakiiko ka NUP ak’ebyokulonda kalabudde nti ssinga bano tebakoma ku bawagizi baabwe, bombi baakuggyibwa mu lwokaano!