RDC ayingidde munsonga z’abatuuze b’e Kasanje abaagobwa ku bibanja byabwe.

Bya Namunye

NGA bwetuze tukulaga abatuuze b’e Kasanje ku kyalo Bumpenje-Kitolo muluka gwe Jungo mu ttawun kkanso ye Kasanjje mu Wakiso abasoba mu 50 abaagobwa omugagaga Alfred Kabuchu  ku bibanja byabwe ng’agamba ettaka kwebali yaligu;la wamu n’okwonoona ebirime byabwe lwadaaki bafunye ku suubi oluvanyuma lw’omubaka wa pulezidenti atwala ekitundu kino Frank Kyazze okuyimiriza emirimu gy’omugagga ejikolebwa ku ttaka lino okutuusa nga ensonga zigonjoddwa.

RDC alagidde atwala poliisi y’e Kasanje okutekesa munkola ekiragiro kino era nayita olukiiko mbagirawo ku ofiisi ye nga 21/8/2024 okusisinkana abalina ebibanja ku ttaka lino balagidde okujja n’ebiwandiiko kwebaagulira nga mu lukiiko ayise OC we Kasanje, Ssentebe w’ekyalo wamu ne Kabuchu.

Abatuuze abaagobwa ku bibanja basuka mu makumi ataano nga ettaka lino litudde ku bunene bwa yiika 51 nga liri ku Block No. 526 Plot 1 Busiro nga lyaali lya mugenzi Yusuf Kalanzi eyali omulamuzi ng’abaana be bebasigala ku ttaka lino era bebatandika okuliguzaako abantu abenjawulo ekivuddeko obuzibu abatuuze okutuuka okwononerwa ebintu byaabwe kyokka nga bagamba baagula mateeka era nga edagaano z’obuguzi zonna bazirina.

 Fatumah Nagayi eyakulembeddemu abaagobwa ku bibanja byabwe yalombojjedde RDC Kyazze okusomozebwa kwebayiseemu wamu ne ofiisi ezenjawulo zebatambuddemu naye nga tebayambibwa kwosa banaabwe abamu okugalirwanga makomera kwosa abakozi bomugagga okubakwatira amajambiya nebabagobaganyanga buli lwebabeera baze ku bibanja byabwe nga kati omugagga yabyefuga yakolerako emirimu gye.

Ssentebe w’ekyalo Bumpenje Kooya Mukasa bwatukiriddwa okuwebwa ebaluwa emuyita mu lukiiko ategezeza nga ensonga zino webaze nga bazituulamu enfunda eziwera wabula nga omugaaga Kabuchu ayogerwako talabikako okuleka abakozi beyateeka ku ttaka lino nga bakulemberwamu maneja wabwe Bagura Alex nga nebiwandiiko bya Kabuchu tebabirabangako.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *