AH! LWAKI OGWA BESIGYE OMULAMUZI YAGUWULIDDE NE KU TADOOBA!

Bya Mugula Dan

OMULAMUZI Emmanuel Baguma owa kkooti enkulu mu Kampala, ppeeni gye yabadde awandiisa, yatuuse okuggwamu ink, olwo omuyambi we n’amuwa endala, Looya wa BESIGYE, Ssaalongo Erias Lukwago n’afuluma ebweru okulya ku mmere nga kwogasse ne Looya omukazi Kunihira naye n’adduka mu kkooti okugenda okulya ku mmere.

Bino byonna okubaawo, nga kkooti eyatandise ku ssaawa nga 5:30 ez’okumakya ekandaaliridde nnyo ekyabadde kitasuubirwa mu mulamuzi Emmanuel Baguma gwe boogerako ng’owembazuulu.
Oludda lwa BESIGYE, lwakulembeddwamu Looya Munnakenya Martha Karua, Lukwago, Fredrick Mpanga, Ssekanjakko, Kunihira n’abalala, ate olwa gavumenti ; Richard Birivumbuka ne Jatiko.
KATA BALEETE TADOOBA
Baguma yagenze okuwuliriza enjuyi zombi, ng’essaawa zigenda mu 12:30 ez’olweggulo, era nga n’enzikiza etandise okukwatirira ekyaleetedde abamu okwekuba obwama nti ndowooza OMULAMUZI Baguma bamuleetere tadooba emumulise.
Wabula kino abamu baakitadde ku kavuvung’ano balooya n’abavubuka abaayimbanga ennyimba nti; Birivumbuka will die, Baguma will die mu kkooti Baguma lwe yagaana okuteeka omukono ku biwandiiko ebimuleeta mu kkooti! Lukwago ne banne nga kuno kwaliko ne Looya Mabiriizi okumulumba mu ‘Chambers’ ze ku kkooti enkulu, era abamu bagamba bye bimu ku byamugonzezza!

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *