Ekivvulu ky’ekibuga Kampala kikomyewo oluvannyuma lw’okuwummulamu emyaka munaana

Bya Mugula Dan

Ekivvulu kya Kampala City Festival kikomyewo era nga kituuse langi, ennyimba, n’okucamuka abatuuze b’omu kibuga bangi bwe basubiddwa ennyo okumala kumpi emyaka kkumi.

Oluvannyuma lw’okuwummula okumala emyaka munaana, ekivvulu kino eky’omunaana kigenda kubeerawo nga October 5, 2025, ng’ebula ennaku bbiri zokka okutuka ku meefuga ga Uganda ag’omulundi ogwa 63.

Omwaka guno ekitongole kya Kampala Capital City Authority KCCA ki suubiza okutegeka ekivuulu kino okuba “egya waggulu, nga kisingako obuvumu East Africa era.”

Okutongoza kuno mu butongole kwabadde ku City Hall mu Kampala ku lw’okusatu August 6, nga okutongoza kuno kwetabidwamu abakungu ba gavumenti, abakulembeze b’ebyobuwangwa, abayimbi, n’abawagizi abasuubuzi.

Akulira ekitongole ki KCCA, Sharifah Buzeki yalangiridde mu butongole nti ekivvulu kino kigguddwawo, ng’akiyita kirabo eri abantu b’e Kampala.

“Ku mulundi guno, tukuleetedde ekivvulu ekitaliiko mulala,” Buzeki bwe yagambye. “Abantu b’e Kampala basubiddwa vibe, ennyimba, n’omwoyo gw’ekibuga kino ekinene.Tubaddiza.Guno gwe mukisa gwaffe okuddamu okuyunga n’okujaguza obuwangwa bwaffe, obuyiiya, n’enkulaakulana.”

Omulamwa “Okujaguza Kampala: Obuwangwa bwayo, obuyiiya, n’okuyimirizaawo,” ekivvulu kya 2025 kikwatagana n’ekiruubirirwa ky’ekibiina ky’amawanga amagatte eky’enkulaakulana ey’olubeerera 11, ekisaba ebibuga ebirimu abantu bonna, ebitaliiko bulabe, ebigumira embeera, era ebiwangaala.

Kabuye Kyofatogabyee, minisita w’eggwanga ow’ekibuga Kampala Capital City and Metropolitan Affairs, yasanyukidde okuzzaawo ekivvulu kino era n’asabye bannansi n’ebitongole byonna okuwanyo obuwagizi bwabwe.

“Kino kikwatagana n’ekigendererwa kyaffe okuzimba ekibuga ekiteeka akamwenyumwenyu ku maaso ga buli muntu,” bwe yagambye. “Ffenna tuwagire embaga kabonero ka kye tuli era kye twagala okubeera.”

Ekivvulu kino kigenda kubaamu emirimu egy’enjawulo, omuli okuyimba mu by’obuwangwa, obuyiiya, obutonde bw’ensi n’okuvuga obuyonjo, ebivvulu by’ennyimba, emyoleso gy’emmere, enkambi z’ebyobulamu, ebifo eby’amawulire, n’ebifo abaana we bazannyira.

Zahara Luyirika, Sipiika w’olukiiko lwa KCCA, yasiimye obukulembeze bw’ekitongole kino olw’okuzzaawo ekivuulu kino , ng’agamba nti ekiwayi ky’ebyobufuzi eky’olukiiko kiwagira mu bujjuvu enteekateeka eno.

“Ekivvulu kino kiranga ebeeren’akabonero k’obumu n’okuyingiza abantu bonna.Abatuuze b’e Kampala basaana okujaguza ekibuga kyabwe n’ebyo bye batuuseeko,” Luyirika bwe yagambye.

Era eyabaddewo ye Juliana Kaggwa, akulira ekitongole kya Uganda Tourism Board (Uganda Tourism Board (UTB), eyawagira ekivvulu kino ng’omukisa ogw’amaanyi okutumbula Kampala ng’ekifo eky’obulambuzi.

“Twewaayo okukolagana ne KCCA okutumbula Kampala ng’ekibuga ekisinga okulondebwa abagenyi ab’omunda n’ab’ensi yonna,” bwe yagambye.

Omukolo guno era gwafunye okusiimibwa okuva mu bwakabaka bwa Buganda, nga Robert Sserwanga, Minisita w’ebyemizannyo n’abavubuka, n’awaayo obuwagizi bw’obwakabaka n’okusaba ba siponsa obutasubwa mukisa guno.

“Ekivvulu kino kya ssanyu,” Sserwanga bwe yagambye. “Eri ba siponsa baffe abawagira kino kwe kuwagira obulungi n’essanyu ly’abantu baffe.”

Abagenyi ku mukolo gw’okutongoza kuno bazze baweebwa ekivvulu eky’omwoyo ekyakoleddwa omuyimbi Kenneth Mugabi omukugu mu kuzannya Afro-Soul, eyafulumye abalabi n’oluyimba lwe olwa Nambi olwakwatayo.

Abakiise ku kakiiko akategeka ekivvulu kino nako ne beegatta ku by’amasanyu, nga balaga nti n’abateekateeka ebibuga bamanyi okusanyuka.

Ekivvulu kino kyasembayo okutegekebwa mu Kampala 2017, kisuubirwa okusikiriza enkumi n’enkumi z’abatuuze n’abagenyi okuyingira mu kibuga wakati okujaguza Kampala .

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *