Abatuuze b’e Kira beezoobye ne poliisi nga bakola bulungi bwa nsi.

Bya Mugula Dan

Wabaddewo okuwanyisiganya ebigambo ebisongovu wakati w’abatuuze mu Kira ne poliisi y’e Kireka lwa kubalemesa okukola bulungi bwansi.

Abatuuze b’e Kireka nga bakulemeddwa eyeegwanyizza ekifo ky’okubaka wa Kira Municipality George Musisi Peter Kazibwe eyegwanyizza obwa ssentebe wa Division y’e Namugongo ,kkansala Aisha Nabbanja, abakulira eby’obulamu mu Kira bakulembedde abatuuze nebayonja ebitundu nga batandikidde mu zzooni ya Kireka B .

Kyokka poliisi nga ekulembeddwa akulira poliisi y’e Kireka Ezira Asiimwe ng’ali nabaserikale abakakanya obujagalalo batuuse mu kifo nebayimirizza abatuuze okukola bulungi bwansi kubanga tebaafunye lukusa okuva ku poliisi,kyokka ebigambo bya poliisi abatuuze bagaanye okubikkirizza nebategeezza nti ekikolwa kyebaliko kya bulungi bwansi mu kujjukira emyaka 32 egya Ssabasajja ng’atudde ku Namulondo ya ba jjajja be.

Aisha Nabbanja kkansala w’ekitundu kya Kireka B bavumiridde ekikolwa kya polisi okwagala okubalemesa okuyonja ,abatuuze balemeddeko nebeyongera okulongoosa,kyokka poliisi esigadde ebalondoola, abatuuze beyongeddeyo nebakola bulungi bwansi okutuuka ku Lubiri lwa Kabaka olw’e Kireka poliisi nebesonyiwa 

Geroge Musisi ne Peter Kazibwe nabo beegasse ku batuuze nebavumirira ekya poliisi okwagala okubalemesa okuyonja ebifo ate nga okukola bulungi bwa nsi tekyetagisa lukusa lwa poliisi,bano olumalirizza okukola bulungi bwa nebeyongerayo ku byalo omuli Kireka D ne Kasokoso okubuuza abantu n’okubakuyega babalonde mu kalulu ka 2026.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *