Tukume obutonde bw’ensi nga Kabaka bwaze atukubiriza

Bya namunye

Nga obwakabaka bwa Buganda buli muketalo okukuza amatikira ga ssabasajja kabaka Ronald Muwenda Mutebi ii ago mulundi ogwa 32 nga alamula Obuganda, agagenda okubawo olw’aleero nga 31 omwezi ogwo kutano ku muzikiti e Kibuli, abantu bonna bakubirizidwa okwongera okukuma obutonde bwe nsi nga ssabasajja kabaka bwaze abakubiriza.

Abe kitongole kyo bwanakyewa ekya Joint Energy and Environment Project (JEEP) nga kino kitakabanira butonde bwa nsi, batongonza Esigiri ekekereza enku na Manda eyitibwa Save 80%percnt nga eno bagala bagibunyise Uganda yonna wamma okutema Emiti okwokya Amanda no okutema enku kukundere ddala olwo ensi eryoke enyume nga erimu Emiti.

Abadde omugenyi omukulu mu kutongoza Esigiri eno ku kitebe kya JEEP e Kyanja mu Kampala Omulabirizi wo bulabirizi bwe Kampala eyawumula the rit rev Hanington Mutebi akubiriza abantu okukomya omuze gwo kusanyawo obutonde bwe nsi gamba nga bewala okuzimba mu ntobazi no okutema ebibira.

Ate ye akulira olukiiko okukulu olwe ekitongole kya JEEP Dr Benon Muyinza Ssekamate awadde banauganda amagenzi bwebayinza okwenyigira mu kulima Emwanyi kyoka nga tebasanyizawo bibira.

Ono abakubiriza okusimba Emiti gamba nga Omutuba mu misiri gye Mwanyi kiyambeko obutonde bwe nsi okusigala nga butambula ate ne Mwanyi nga bwezifunamu.

Ate ye akulira ekitongole kino Ruth  Namboga Kiwanuka asabye banauganda okukolera awamu mu kulwanirira obutonde bwe buleme kusanawo kuba kyabulabe eri obulamu bwa bantu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *