Omugagga ayagala okutwala ettaka asattiza abatuuze ku kyalo

Bya namunye news

ABATUUZE abasoba mu 50 ku kyalo Bumpenjje-Kitolo muluka gwe Jjungo mu ttawun kkanso ye Kasanjje mu Wakiso bali mukusatira olw’omugagga Alfred Kabucu abasengula ku bibanjja byabwe nga yerimbise mu linnya ly’omudumizi wa UPDF Genral Muhoozi Kayinerugaba gwagamba nti ye nanyini ttaka lino eriwezaako yiika 51 nga lisalagana mu byalo bibiri Buwoya ne Bumpenjje.

Nagayi Fatumah nga akulukusa amaziga

Fatumah Nagayi agamba yagula ekibanja kino kub’oluganda Jimmy Kalanzi mu 2017 nga yatandika okulimira ku ttaka lino  nga wakati mukukolerawo omuvubuka omu amanyiddwa nga Alex akolera Kabucu namutukirira namutegeeza nga ekiffo wakolera waliwo mubukyamu era taddamu okukolerawo abamuguza bamuguza mpewo ettaka lya munene newakola atya tajakumusobola .

Mzee Anatoli ngali mubirowoozo

Ono agamba agenda okunoonyereza kunsonga zino nga waliwo ow’okika Olivia Rine Mwebeiha  omulala eyakozesa olukujukujju naye natunda ettaka lino eri Kabucu kyokka Kabucu ayogerwako tabatukirinangako okujako okukozesa abasajja abakozesa amajambiya okubagoba ku ttaka lino nga bano basaawa ebirime by’abatuuze n’okubikumako omuliro omugagga nasimba emiti n’ebirime ku ttaka lino nga kati bo tebalina kiddako nga bekubidde enduulu buli wamu wabula tebafuna buyambi bwona nga ne poliisi tebayambye.

Mponye ssentebe w’ekyalo

Ye Ssalongo Kalema  Shafiki nga naye yagula ku ttaka lino mu 2017 nga naye bamulemesa okukolera mu kifo kye n’abakozi beyali yatekako nebabagoba namaambiya  kyokka ono weyagenda ku poliisi e Kasanjje okulopa bagalira mugalire nga yamala kuwaayo nsimbi okumuyimbula wabula abasirikale nebamulabula okwesonyiwa ettaka lino kubanga abaliriko banene era ettaka kati likuumibwa ba bijambiya.

Ezimu kundagaano z’abatuuze ku ttaka

Anatoli Mukyunguzi 85 nga agamba yagula ekibanja kye mu 1968 ku nusu 160 nga ono naye ekitundu ku kibanjakye kyatwalibwa nga kati yasigazaawo kawugiro nga nabalala okuli Ruth Namuddu, Mubiru James, Ddamba Usama nabalala bebali mukusoberwa nga balajanidde ssaabaminisita Nabanja, pulezidenti  Museveni, Muhoozi agambibwa nti ye nanyini ttaka nabalala okubaduukirira basobole okufuna obwenkanya oba babadiza ssente zaabwe bazibadize kuanga abamu kubo bavubuka nga ssente bazijja ku kyeeyo okusobola okutandikawo obulamu nga kati tebamanyi kiddako kubanga obulamu bwabwe bwakoma.

Ettaka okuli enkaayana

Ssentebe w’ekyalo Bumpenjje-Kitolo Jembozi Mponye ategezeza nga Kabucu agaoba abantu ku ttaka tatukangako mu ofiisi ye kyokka asibye abatuuze makomera nga yeyita nga wakolera abanene mu gavumenti kwosa okusaawa ebirime by’abantu kyokka abagobebwa ku bibanjja bano bagulira mateeka era nga LC yabaterako omukono nga nababaguza ba famile nga wano wasabidde bekikwatako okubayamba bayingire munsonga  zino nga embeera teneyongera kusajuka.

Yusufu Kalanzi owa family

Yusufu Kalanzi nga muzukulu mu maka gaba Jimmy Kalanzi agamba abaguula ettaka lino bagulawo mateeka era omu kubakitaawe Kalanzi yeyabaguza nga ategezeza nga obuzibu webuva ku ssenga wabwe  Olivia Rine Mwebeiha eyaddamu natunda ettaka lino  kyokka Rwini watuukiriddwa ku ssimu ategezeza nga watasobola kwogera kunsonga zino era najako essimu ye.

Ye Alefred Kabucu agambibwa okugobaganya abatuuze ku ttaka lino watuukiriddwa ku ssimu ategezeza nga ensonga ezogerwako watazimanyi kyokka wamaliriza nategeeza nga ye waali omukozi wa Kabucu amanyiddwa Alex naye eby’ettaka eby’ogerwako tabimanyi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *