Abazigu batemyetemye abafumbo e Ntebe

Bya namunye

Waliwo abatemu abatannategeerekeka abaalumbye abafumbo e Ntebe nebabasanjaga!
Ettemu lino lyabaddewo mu kiro ekikeesezza eggulo ku kyalo Lugonjo mu municipality y’e Ntebe.


Abattiddwa ye; Mutaaga David ne mukyalawe Deboral Florence Mutaaga.
Omumyuka w’omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano ,Luke Owoyesigire agambye nti omuyiggo ku batemu gutandikiddewo.


Emirambo gitwaliddwa mu ggwanika e Mulago okwekebejjebwa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *