Gavumenti ye Kenya ewaliriziddwa okuteeka omuggalo ku kibuga Nairobi

Bya Namunye

Embeera e Kenya eyongedde okutabuka oluvannyuma lw’abavubuka ba ‘Gen Z’ okuddamu okwekalakaasa nga baagala Pulezidenti WilliamRuto alekulire.

 Woosomera bino, mu bitundu nga Mombasa ne Nairobi okutambula olina okubeera n’ebikwogerako nga Poliisi n’amagye byaza buli muntu nga kati n’enguudo eziyingira ebibuga byonna ziggaddwa

Gavumenti ya Kenya ewaliriziddwa okuteeka omuggalo ku kibuga ekikulu Nairobi nga kino kivudde ku bavubuka ba “Gen Z” abaagala okukuba gavumenti ya Pulezidenti Ruto egende nga bayita mu kwekalakaasa kwebaatumye “Saba Saba”. 

 Obudde buno abekalakaasi mu bitundu nga Kiserian bongedde okutaama era  Poliisi neewalirizibwa okukuba amasasi mu bbanga okubagumbulula kyokka nga bbo bakanya kuzza mayinja. 

Bino bigenze okubaawo nga omumyuka wa Pulezidenti Kithure Kindiki ayise abavubuka batuule ne gavumenti bateese ku ngeri gyebayinza okutuuka ku kukkaanya

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *