Obukyafu bukosa enkulakulana-Hajjati Buzeki

Bya Mugula Dan

Olunaku lw’eggulo Ssenkulu wa KCCA, Hajjati Sharifah Buzeki yegasse ku basuubuzi mu katale ke Busega okulongoosa akatale kano.

Hajjati Buzeki wano yakkaatirizza obukulu bw’okuba n’akatale akayonjo, abantu okulya emmere eyeesigika kwossa okuba n’ekibuga ekirimu abantu abalamu kuba bizinensi zikula ewali obuyonjo.

Hajjati Buzeki era yasomesezza abasuubuzi ku ngeri y’okwawulamu kasasiro avunda ku atavunda.

Enkola eno eri wansi w’enteekateeka ya Weyonje egendereddwamu okukuuma ekibuga nga kiyonjo era ekirimu abantu abalamu nga kino Buzeki akikoze mu bitundu eby’enjawulo okuli Kamwokya, Nakawa, Mutundwe n’ebitundu ebirala era nga wakutuuka ne mubitundu ebirala.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *