Bya Mugula Dan
Waliwo Munna NRM Briton Kiwanuka azziddwayo akakiiko k’ebyokulonda mu kibiina ng’ono abadde azze kufuna mpapula zimukkiriza kwesimbawo ku kifo kya Ssentebe w’ekibiina mu ggwanga ekirimu Pulezidenti Museveni kati. Bwabadde amuzzaayo, Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda mu kibiina Tanga Odoi amusabye akomewo ku Lwokutaano lwa Ssabbiiti eno nga tezinawera ssaawa mukaaga nti ffoomu lwezigenda okubeerawo.
